1 Corinthians 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mwe munaalokolerwa, bwe muba nga munyweredde ku eyo gye nabayigiriza, okuggyako mpozzi nga mukkiriza lwa busa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
gye mulokokeramu, singa muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ag'okubalokola bwe munaagakuumira ddala nga bwe nagabategeeza. Bwe kitaba bwe kityo, mpozzi nga mwakkiririza bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere.