1 Corinthians 15:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo enkomerero n'eryoka etuuka, bw'alikwasa Katonda Taata obwakabaka ng'amaze okumenya buli bufuzi, na buli buyinza, na buli maanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo enkomerero n'eryoka etuuka. Kristo ng'amaze okuggyawo obufuzi bwonna, n'obuyinza bwonna era n'amaanyi gonna, n'akwasa Katonda Kitaawe Obwakabaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza.