1 Corinthians 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manyanga byonna Katonda yabissa wansi w'ebigere bye. Naye oli bw'agamba nti: “Byonna byassibwa wansi we,” kiba kya nkukunala nti Oli eyabissa wansi we taliiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga “Katonda atadde ebintu byonna wansi w'ebigere bye.” Naye bwe kigambibwa nti, “ Ebintu byonna bisiddwa wansi w'ebigere bye.” Kiba kitegeeza nti ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kyawandiikibwa nti: “Katonda yamuwa okufuga ebintu byonna.” Naye bwe kyogera ku bintu byonna, tekitwaliramu Katonda, eyawa Kristo okufuga ebintu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.