1 Corinthians 15:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba si bwe kityo bwe kiri, bagenderera ki okubatizibwa ku lw'abaafa? Lwaki baabatizibwa ku lw'abo oba ddala abafu tebalizuukizibwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? Oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ng'abafu tebazuukira, abo ababatizibwa ku lw'abafu bagenderera ki? Kale lwaki babatizibwa ku lw'abafu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?