1 Corinthians 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabatusaako nange kye nafuna, mu kusookera ddala nti Kristu yafa olw'ebibi byaffe ng'Ebiwandiiko bwe bigamba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabatuusaako ekigambo ekikulu, nange kye naweebwa, ekigamba nti Kristo yafa olw'ebibi byaffe, ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;