1 Corinthians 15:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, ndayira okwenyumiriza kwe nnina mu mmwe mu Kristu Yezu Mukama waffe, nti buli lunaku ndi mu kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda, mpakanya, okwenyumiriza kwe nnina mu mwe, ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe, nange nfa buli lunaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, olw'okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nsanyukiramu mu Kristo Yesu Mukama waffe, nnyinza okukakasa nti nfa buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe.