1 Corinthians 15:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa eky'enjuba kirala, n'ekitiibwa eky'omwezi nakyo kirala, n'ekitiibwa eky'emmunyeenye nakyo kirala; n'emmunyeenye zaawukana mu bitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala, kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo ekitiibwa eky'enjuba, waliwo ekitiibwa eky'omwezi, era waliwo ekitiibwa eky'emmunyeenye. Naye n'emmunyeenye tezenkanankana kwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.