1 Corinthians 15:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo kyawandiikibwa nti: “Omuntu omubereberye Adamu yafuuka omwoyo omulamu;” naye Adamu ow'oluvannyuma yafuuka omwoyo oguwa obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti, “Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu.” Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng'alina obulamu.” Kyokka Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.