1 Corinthians 15:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino ekivunda bwe kirimala okwambala obutavunda, na kino ekifa nga kimaze okwambala obutafa, olwo ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti: “Olumbe lumiriddwa mu buwanguzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti, “Okufa kumiriddwa mu kuwangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, n'ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira, ekigamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula.