1 Corinthians 15:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate n'alabikira n'abooluganda ebikumi bitaano n'okusoba ku mulundi gumu; abasinga obungi mu bo bakyaliwo n'okutuusa kati, newandibadde ng'abalala bagalamidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'alyoka alabikira ab'oluganda abasukka mu bikumi ebitaano (500) omulundi gumu, era bangi ku bo abakyali abalamu newakubadde nga abamu baafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'oluvannyuma n'alabikira baganda baffe abasukka mu bikumi ebitaano, bonna nga bali wamu. Abasinga obungi ku bo bakyali balamu, newaakubadde nga abamu baafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka;