1 Corinthians 16:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku bikwata ku kusonda okwakolebwa abatuukirivu: Nammwe mukole nga bwe nagamba Ekleziya z'omu Galasiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku bikwata ku kukuŋŋaanyiza ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ebyo ebikwata ku kukuŋŋaanya eby'okuyamba abantu ba Katonda, nammwe mukole nga bwe nalagira ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Galatiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.