1 Corinthians 16:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye muganda waffe Apollo namwekubako nnyo abakyalireko wamu n'abooluganda abalala, naye olwo yali tannafuna mwoyo gujja. Bw'alifuna akabanga, alijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku bya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda, n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apollo, namwegayirira nnyo ajje gye muli ng'ali n'abooluganda abalala, kyokka ye n'atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng'afunye ebbanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.