1 Corinthians 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, nnina kye nsaba: Mumanyi ng'ab'ennyumba ya Stefana be baasooka okusoma mu Akayiya, era nga bajjumbize mu kuyamba abatuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mbeegayirira, ab'oluganda mumanyi ennyumba ya Suteefana, be basooka okukkiriza mu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mumanyi nti ab'ennyumba ya Siteefano be baasooka okukyuka mu Asiya, era beewaayo okuweereza abantu ba Katonda. Mbeegayirira
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu),