1 Corinthians 16:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekleziya z'omu Aziya zibalamusizza. Akwila ne Prisika n'Ekleziya yenna akuŋŋaanira mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza. Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Asiya bibalamusizza. Akwila ne Priska, awamu n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu maka gaabwe, babalamusizza nnyo mu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.