1 Corinthians 16:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe ayawuzengako atereke ebbali ky'aba asobodde, okusonda muleme kukukola nga mmaze okutuuka eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olusooka mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe abeeko kyatereka ewuwe nga asinziira ku busobozi bwe, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe abeeko ky'atereka, okusinziira ku nfuna ye, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.