1 Corinthians 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsuubira okusigalako ewammwe; oboolyawo ndimala n'eyo obudde obw'obutiti, olwo mmwe ne mumperekereko bwe ndiba ntuusizza okugenda wonna we ndiba ndaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oboolyawo ndibeera nammwe, oba n'okumala ndimalayo nammwe ebiseera eby'obutiti byonna, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era osanga ndibeera nammwe, mpozzi n'okumalirako ddala n'ebiro eby'obutiti, mulyoke munnyambe okwongera olugendo lwange buli gye ndigenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.