1 Corinthians 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, nange bwe najja gye muli, sajja nga nnangirira ekyama kya Katonda mu njogera ya kikugu oba ya kigezi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, bwe najja gye muli, okubategeeza ekyama kya Katonda, saakozesa bigambo bizibu okutegeera, oba eby'amagezi ennyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda,