1 Corinthians 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yabitwoleka mu Mwoyo we; anti Mwoyo yeekebejja buli kintu, newandibadde munda mu Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.