1 Corinthians 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani amanyi ebiri mu muntu munda okuggyako omwoyo gw'omuntu ogumulimu? Bwe kityo nno n'ebiri munda mu Katonda tewali abitegeera okuggyako Mwoyo wa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? Era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali amanya birowoozo bya muntu, wabula omwoyo gwe gwe gubimanya. Bwe kityo ne Mwoyo wa Katonda ye yekka amanya ebya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.