1 Corinthians 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani amanyi Omukama by'alowooza munda ye nti amuyigirize? Naye ffe tulina endowooza ya Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama, era ani alimulagira? Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, “ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize?” Naye ffe tulina endowooza ya Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga, “ani amanyi Mukama by'alowooza alyoke amuwabule”? Kyokka ffe tumanyi endowooza ya Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo.