1 Corinthians 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula tubabuulira amagezi ga Katonda ag'ekyama agaali gakisiddwa, Katonda ge yategeka okuva ddi nga n'emirembe teginnasooka, tutuuke ku kugulumizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye twogera amagezi ga Katonda ag'ekyama, agali gakwekeddwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wabula twogera eby'amagezi ga Katonda agatamanyiddwa bantu, era agaakisibwa. Katonda yagateekateeka edda n'edda lyonna, gabe ekitiibwa kyaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe: