1 Corinthians 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bakungu b'ensi tewaali n'omu kino yakimanya; baba kukimanya tebandikomeredde Mukama ow'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali n'omu ku bafuzi ab'omu mulembe guno abaagategeera, kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama ow'ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali n'omu ku bafuzi ku nsi kuno ategeera magezi ago, kubanga singa baagategeera, tebandikomeredde ku musaalaba Mukama oweekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa: