1 Corinthians 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebintu eriiso bye litalabangako n'okutu bye kutawulirangako n'omutima gw'omuntu bye guteefumiitirizangako, ebyo Katonda bye yategekera abo abamwagala,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, n’okutu bye kutawulirangako, n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.