1 Corinthians 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange nno, abooluganda, saayogera nammwe ng'abantu aba Mwoyo, wabula ng'abantu obuntu, abakyali abato mu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abooluganda, ssaasobola kwogera nammwe ng'abafugibwa omwoyo, naye nayogera nammwe ng'abantu abafugibwa omubiri, abakyali abato mu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.