1 Corinthians 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'eneema Katonda gye yampa nassaawo omusingi, okufaanana ng'omuzimbi omukugu bw'akola, okwo omulala kw'azimbira. Buli omu yeegendereze bw'aguzimbirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omuzimbi omukugu ow'amagezi n'asima omusingi, naye kaakano omulala aguzimbako. Naye buli muntu yeegenderezenga bw'aguzimbako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nakola omulimu gw'omuzimbi omukugu, nga nsinziira ku kisa Katonda kye yankwatirwa, ne nteekawo omusingi, n'omuzimbi omulala kw'azimbira. Kyokka buli aguzimbirako yeegenderezenga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako.