1 Corinthians 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tewali asobola kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwassibwawo, ye Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewali muntu ayinza kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Yesu Kristo yateekebwawo, nga gwe musingi gwokka, era tewali ayinza kuteekawo musingi mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo.