1 Corinthians 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli mulimu gwa kinnoomu gulyolekebwa, kubanga olunaku lw'Omukama luligulaga; anti gulyolekebwa n'omuliro; omuliro guligeza buli kika kya mulimu gwa kinnoomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omulimu ogwa buli muntu gulirabibwa, kubanga ku lunaku luli omuliro guligwolesa, n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omulimu gwa buli omu gulirabibwa. Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lwe luligwoleka, kubanga lulikya na muliro. Era omuliro ogwo gwe gulyoleka omulimu gwa buli omu nga bwe gufaanana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.