1 Corinthians 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli bw'alizikiriza ekiggwa kya Katonda, ne Katonda alimuzikiriza; kubanga ekiggwa kya Katonda kintu kitukuvu, ate ekiggwa ekyo ye mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bw'azikirizanga Yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuntu bw'azikiriza essinzizo lya Katonda, omuntu oyo alizikirizibwa Katonda, kubanga essinzizo lya Katonda ttukuvu, era essinzizo eryo ye mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe: