1 Corinthians 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabulewo eyeerimba; oba mu mmwe mulimu alowooza nti mugezi mu mulembe guno, afuuke musiru, alyoke afuuke omugezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna teyeerimbanga. Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waleme kubaawo yeerimba. Bwe wabaawo mu mmwe eyeerowooza okuba omugezi mu by'ensi, afuukenga musiru, lw'aliba omugezi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.