1 Corinthians 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mu maaso ga Katonda, amagezi g'ensi eno buba busiru. Anti kyawandiikibwa nti: “Akwatira abagezi mu bukujjukujju bwabwe,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga amagezi g'ensi, buba busirusiru mu maaso ga Katonda. Kyawandiikibwa nti: “Katonda akwatira abagezi mu bugezigezi bwabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa ati Akwasa abagezi enkwe zaabwe: