1 Corinthians 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asimba n'afukirira bonna kye kimu; buli omu alifuna empeera okusinziira ku mulimu gwe yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye asiga n'afukirira benkanankana, naye buli muntu aliweebwa empeera okusinziira ku mulimu gw'aliba yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo asiga, n'oyo afukirira, bonna benkana, era buli omu aliweebwa empeera ye, okusinziira ku mulimu gwe yakola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba.