1 Corinthians 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuli basiru olw'okubeera Kristu, naye mmwe muli bagezi mu Kristu; tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe mussibwamu ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi. Mmwe muweebwa ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa.