1 Corinthians 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ku ssaawa ya leero tuli bayala, tulumwa ennyonta, tuyita bwereere, tukubibwa, tetulina we tusula;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'okutuusa kati tulumwa enjala n'ennyonta, tetulina kye twambala, tukubibwa, era tubungeeta bubungeesi;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;