1 Corinthians 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe tuweebuulwa, ffe tukanya kuddaabiriza; tufuuse bikudumu bya nsi, ebisejja n'okutuusa kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe tuwaayirizibwa, twegayirira; twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi, empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tuvumibwa, ffe tuddamu na ggonjebwa. Era okutuusa kaakano, tuli ng'ebisasiro by'ensi era obusa bwa byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi; empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.