1 Corinthians 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwandiba nga mulina ababasomesa mu Kristu nga kakumi, naye bakitammwe temulina bangi. Nze nabazaala nga kitammwe mwenna mu Kristu Yezu olw'Evangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza mitwalo mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze n'afuuka kitammwe mu Kristo Yesu olw'Enjiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga newaakubadde nga mu Kristo mulina abayigiriza nkumi na nkumi, naye temulina bakitammwe bangi. Kubanga olw'okubaleetera Amawulire Amalungi, nafuuka kitammwe mu Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza kakumi mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze nabazaaza enjiri mu Kristo Yesu: