1 Corinthians 4:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenvudde mbatumira Timotewo, omwana wange omwagalwa era omwesigwa mu Mukama, okubajjukiza nga bwe mpisa mu Yezu Kristu, nga bwe njigiriza mu buli Ekleziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, anaabajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenvudde mbatumira Timoteewo. Ye mwana wange omwagalwa era omwesigwa. Alibajjukiza ebyo bye ngoberera mu bulamu bwange mu Kristo, era bye njigiriza wonna wonna mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, alibajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa.