1 Corinthians 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze mmwe okunnamula, oba okulamulibwa embuga ez'abantu obuntu, sikitwala ng'ekikulu; nange nzennyini seeramula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango oba omuntu yenna ku lunaku olw’okusalirako omusango; nange sseesalira musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze sifaayo, mmwe oba omuntu omulala yenna okunsalira omusango. Nange nzennyini sigwesalira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku nze kigambo kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango: