1 Corinthians 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno muleke kulamula ng'obudde tebunnatuuka; ng'Omukama tannatuuka oyo alyerula byonna ebikisiddwa mu nzikiza, n'amanyisa enteesa eziri mu mutima; olwo buli omu lw'alifuna ettendo eriva mu Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo temusaliranga muntu musango ng'ekiseera tekinnatuuka, era nga Mukama tannajja. Bw'alijja, alimulisa buli kintu ekikwekeddwa mu kizikiza; era aliraga ebirowoozo ebiri mu mitima gy'abantu. Olwo n'alyoka awa buli omu ettendo erimusaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)