1 Corinthians 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, njogedde ebyo byonna ku nze ne ku Apollo, lwa kubeera mmwe, mulyoke mutuyigireko okugoberera ebyawandiikibwa, wabulewo mu mmwe eyeetenda olw'omu ne kireetera omulala okugayibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ng’anyooma omulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, ebyo byonna mbyogedde ku Apollo ne ku nze nzennyini, ng'ekyokulabirako, biryoke bibayambe, muyige ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Tosukkanga kipimo.” Era mu mmwe temusaana kubaamu agulumiza muntu n'omu, ate n'anyooma omulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.