1 Corinthians 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani akulabyemu eky'enjawulo? Kiki ky'olina ky'otaafuna bufunyi? Oba wakifuna bufunyi, lwaki wetenda ng'ataafuna kifune?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ng’abataakifuna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga akwawula ye ani? Era olina ki ky'otaaweebwa? Naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani akufudde omukulu wa banno? Kiki ky'olina ky'otaaweebwa buweebwa? Kale oba nga waweebwa, lwaki weenyumiriza ng'ataaweebwa buweebwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga akwawula ye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?