1 Corinthians 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati mukkuse! Mwagaggawala dda! Mwafuna obwakabaka nga ffe tetuli nammwe! Singa nno muba bakabaka naffe ne tuba bakabaka awamu nammwe!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwakkuta dda n’okugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe, era mubeera kufuga nnandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumaze okufuna byonna bye mwetaaga. Mugaggawadde. Mufuuse bakabaka, newaakubadde nga ffe si bwe tuli. Ddala nandyagadde mube bakabaka, naffe tulyoke tubeere bakabaka wamu nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.