1 Corinthians 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ndowooza Katonda ffe Abatume atwolese ng'abasemberayo ddala mu bonna; ng'abantu abasaliddwa ogw'okufa; kubanga tufuuse ekyokwerolera eri ensi, bamalayika n'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatuteeka ku nkomerero ng'abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuuka ekyerolerwa eri ensi, eri ba bamalayika n'eri abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ndowooza nti ffe abatume, Katonda yatuwa ekifo ekisemberayo ddala, nga tuli ng'abasaliddwa ogw'okuttibwa, kubanga twafuuka ekyo ensi n'abantu bonna kye beerolera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa enkomerero ng'abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n'abantu.