1 Corinthians 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuwulira, ate nga kikakafu, nti mu mmwe eriyo obuseegu, ate nno ekika ky'obuseegu ekitasangika na mu bakafiiri; anti waliwo omu alina muka kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala kigambibwa nti mulimu obwenzi mu mmwe, ate obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawanga; omuntu okubeera ne muka kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tutegedde nti mu mmwe mulimu obwenzi, obutasangibwa na mu batalina kukkiriza, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n'amufuula mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe.