1 Corinthians 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sitegeeza ggwe wamma buli muntu museegu mu nsi muno, oba ow'omululu gw'ebintu, oba omunyazi, yadde abasinza balubaale, mpozzi ng'ensi mwandigivuddeko buvi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi, kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka sigamba abenzi abatalina kukkiriza, ab'omululu oba abanyazi, oba abasinza ebitali Katonda, kubanga okwewala abo, mpozzi mwandibadde nga muviira ddala ku nsi kuno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi: