1 Corinthians 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula nabawandiikira kubagaana kwetaba n'oyo ayitibwa owooluganda naye nga museegu, oba ow'omululu gw'ebintu, omuvumi, omutamiivu oba omubbi; ow'engeri eyo muleme kulya naye ku lujjuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano mbawandiikira, mulemenga kwetaba na muntu n'omu eyeeyita owooluganda, bw'aba nga mwenzi oba ow'omululu, oba asinza ebitali Katonda, oba omuvumi w'abantu, oba omutamiivu, oba omunyazi. Ow'engeri eyo n'okulya temulyanga naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.s