1 Corinthians 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ab'ebweru mbalamula ntya? Nammwe abali mu mmwe si be mulina okulamula?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Naye abo ab'omu nnyumba si be musaana okusalira omusango?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nfaayo ki okusalira omusango abantu ab'ebweru? Katonda ye aligubasalira. Naye abo ab'omu nju yammwe, temusaana kubasalira musango? Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omubi mumuggye mu mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju?