1 Corinthians 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe muli mu kwetenda! Temusaanye kubeera mu maziga? Eyakola ekyo abaggyibwemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe mwegulumizizza! So temwandinakuwadde bunakuwazi? Oyo eyakola ekikolwa ekyo mu muggye wakati mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mwekulumbaza sso nga mwandinakuwadde bunakuwazi, era eyakola ekyo yandibadde aggyibwa mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe mwegulumizizza; so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.