1 Corinthians 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandibadde siriiyo eyo mu mubiri, naye gye ndi mu mwoyo, era omusango nagumusalidde dda
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde siri nammwe mu mubiri, ndi nammwe mu mwoyo, mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze newaakubadde siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekikolwa ekyo, mmaze okumusalira omusango okumusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo,