1 Corinthians 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu linnya ly'Omukama Yezu, oyo eyakola ekintu ng'ekyo. Bwe munaaba mukuŋŋaanye mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, nga nange ndi nammwe mu mwoyo, mu buyinza bwa Mukama waffe Yezu Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye nange nga ndi nammwe mu mwoyo n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo, era nga n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu Kristo gali nammwe
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu,