1 Corinthians 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwetukuzeeko ekizimbulukusa ekikadde, mubeere obutta obuggya, nga bwe mutaliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristu, akaliga ka Pasika, atambiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muggyemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristo, y'endiga y'Okuyitako kwaffe eyattibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muggyeewo ekizimbulukusa ekyo eky'edda, mulyoke mubeerere ddala ekitole ekiggya, nga ddala temuliimu kizimbulukusa, kubanga Kristo, endiga ey'Okuyitako kwaffe, atambiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo: